Bya Musasi waffe
Omutaka Fred Mayiga, Kyeyune omukuku w'ekika ky'e Nnyonyi Nakinsige asabye Abataka abakulu ab'Obusolya okukunga bazzukulu baabwe bajjumbire enteekateka yemisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka egy'omwaka guno.
Omutaka kyeyune okwogera bino yabadde ayogera eri abantu ba Kabaka abali ku ttaka lye erya mayilo 350 mu ssaza Kyaddondo abaaleese amakula mu Lubiri e Mmengo mu nkola eya Luwalo lwange.

Omutaka Mayiga Fred akutte olubugo ku kkono nga atikkula bannakyaddondo amakula
Eggombolola biri okuli eya Mutuba II Nabweru mu Kyadondo ne Ssaabaddu Kagolo e Kalisiizo mu Buddu be baakiise embuga nga beegatiddwako ekibiina ki Buganda Kwe kwaffe.

Mariam Ndagire nga akwasa Omutaka Kyeyune amakula g'Omutanda
Omutaka Kyeyune yaga bye nti kikulu abaana n'abazzukuku ba Buganda okwenyigiranga obutereevu mu nteekateeka z'Obwakabaka eziruubirira okuleetawo enkulaakulana era n'asaba abataka abakulu b'obusolya okuba abasaale okukunga bazzukulu baabwe okuwagira n'okwagala Kabaka waabwe.
"Oba nga kati enteekateeka eriwo ya Misinde gya Kabaka mwenna mugiwagire, tukimanyi bulungi nti gitegekebwa olw'ekigwendererwa ekirungi eky'okulwanyisa n'okumalawo endwadde embi mu bantu ba Kabaka" Omutaka Kyeyune bweyagambye n'akunga abantu okugenda mu maaso nga bekuuma ekirwadde kya Mukenenya.
"Siriimu akyaliwo, aluma era atta. Ali mu bantu aba buli kikula, buli myaka, abakulu n'abato, abagagga n'abaavu, abakadde n'abavubuka. Mbasaba temulagajjalira bulamu bwammwe" Kyeyune bweyakkaatirizza.

Mariam Ndagire nebeyagenze nabo okutwala amakula mu kifananyi ekyawamu.
Katikiro w'ebyalo bya Kabaka, Moses Luutu abazadde yabakubirizza okufaayo okugunjula abaana baabwe mu mpisa ezinaabafuula ab'omugaso gye buggya ate ye Dr. Ssemwanga Joseph nga ye mukubiriza w'olukiiko lw'e Ssaza Kyadondo yabakubye akaama ka kusibusa nkola eya twekisize bwe baba baagala enkulaakulana. Yagambye nti 'omuntu alonkoma ebyama bye tabaako na kake'.
Mu makula ge baatonedde Omutanda mwabaddemu emmere, zi kimeeme z'embuzi, enkoko n'ebintu ebirala bingi.
Munnakatemba Mariam Ndagire nga ye
mwami wa Kabaka atwala eggombolola ya mutuba ebiri Nabweru yasinzidde wano n'atendereza enteekateeka y'enkola y'emirimu mu Bwakabaka gyeyagambye nti esobozesa buli muntu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu budde.

Na bano baabaddeyo.
Ebiteeso (0)
Tuwe endowoozayo
Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo