Advertisement Area (970x90)
Ekika ky'obutiko

Ekika ky'obutiko, kkooti ya Katikkiro w'eddiiro ezzeemu okuwa ekiragiro ku Ggunju ne Kimoomera

Featured Image
Obugulumbo bwongedde okusajjuka mu kika ky'Obutiko, abawakanya Omutaka Kawere Matiya ku bwa Ggunju bwe baweze nti kuluno baakukozesa eryanyi ery'enjawulo bamusiguukulule ne Kimoomera we ku bukulu bw'ekika kyabwe ky'afugidde mu nsowole okumala ebbanga.
Ne Kawere yayanukuzza bukambwe n'ategeeza nti bwe baba beesigulidde ku kugonjoola nsonga za bwa Ggunju ne Kimoomera nga bayita mu wofiisi z'e Mmengo gabalimbye, anti nti tezirina buyinza  bulonda basiige mu bika sso nga ne Kabaka talina buvunaanyizibwa obwo.
Mu ngeri y'emu Omutaka Kawere yalabudde Mmengo nti bw'eba eyagala nnyo okuba n'obukulembeze bw'abantu yyo beeyagala mu kika Ky'obutiko, egunjeewo ekika ky'Obutiko ekirala yerondere Ggunju owaakyo ne Kimoomera era ebakolere n'olubiri lwa mujaguzo olwabwe.
"Wofiisiyo bw'etatta ku bigere mu kutyoboola ekika kyaffe, tugiwa amagezi nti yaddembe okutandikawo ekika ky'obutiko ekyayo, n'eronda omukulu wakyo nga bw'eyagala era n'eronda ne Kimoomera owayo n'essaawo ne Mujaguzo ezaakyo.
Newankubadde okukozesa eryanyi nga bwewatiisatiisa ssi kya mu nnono yaffe, ate okwerwanako nkola ya ba Jajjaffe abazira ennyo abaatusooka era tuli beetegefu okuteeseza n'okulwanirira ennono n'ebyafaayo byaffe" bwatyo Omutaka Matiya Kawere mu bumalirivu bweyayanukudde Minisita w'ebyobuwangwa e Mmengo Anthony Wamala.
Okutuuka ku bino Minisita Wamala yasoose kuwandiikira Omutaka Kawere ekiwandiiko nga alagira Omw. Muwanga Sseemu Kawere okwamuka Olubiri lwa Mujaguzo Nnamanyonyi e Kabowa Kyaddondo mu bwangu nti kubanga obwa Kimoomera yabulya nsowole.
Nga 4/2/2026 Katikkiro w'ekika ky'Obutiko Mugwanya Henry Namutete ng'ali wamu n'Omutaka Muyenje Charles nga ono ye  Kimoomera omutuufu, baddamu ne beekubira enduulu mu kkooti ya Kisekwa nga beemulugunya ku ngeri ensonga z'obukulu bw'ekika kyabwe gye zikwatiddwamu bo gyebagamba nti yaakasoobo.
Ku mmande nga 23/2/2026 kkooti ya Kisekwa nga ekulemberwamu Dr. Ssonko Robert K. yawandiikidde Minisita W'ebyobuwangwa, okulambula, embiri, Amasiro n'ebyokwerinda, Anthony Wamala ekiwandiiko nga emulaga nga ensonga z'obukulu bw'ekika ky'Obutiko bwe zizze ziwulirwa mu kkooti ez'enjawulo okuli n'eza gavumenti nga zonna zooleka nga Omutaka James Kibaya Musoke bw'ali omukulu w'ekika ky'Obutiko omutuufu nga ne Kimoomera ye Omutaka Charles Muyenje.
Kisekwa yakirambise nti bo tebakyalina bujulizi buyunza kubaggya kw'ebyo ebizze bisalwawo nga tewali na nsonga lwaki gukomawo mu kkooti ya Kisekwa.
Okusinziira ku Katikkiro w'ekika kino balina bamaliridde okusindiikiriza Omutaka Kawere ave ku bwa Ggunju mu bwangu nti kubanga Ggunju omubuze Omutaka Kibaya Musoke ekiraamo kyeyaleka kibabuzizzaako eddembe
" Omutaka Kibaya Musoke Ggunju yaseerera mu mwaka gwa 2022 nga kati emyaka ena miramba tayabizibwanga lumbe n'ekika tekirina mukulembeze. Jajja mu kiraamo kye yalagira nti tewabangawo omuntu yenna ayabya olumbe lwe nga Matiya Kawere tamaze kuggyibwa ku bwa Ggunju.
Era yalagira nti n'ebintu byonna eby'ensonga mu kika omuli akambe, akakomo n'ebirala byeyawamba amalanga kubikomyawo n'olwekyo ffe twagala kutuukiriza kiraamo ekyo. Emirundi munaana gyeyagenda mu kkooti yavangayo nga ye muwanguzi" bwatyo Nnamutete bweyagambye.
 
Ensowole mu kika ky'Obutilo yatandika oluvannyuma lw'Omutaka Luboyera Binnyobibi eyali Ggunju owomukaaga okuseerera kyokka bannakigwanyizi ne bagaana mutabaniwe, Gambizzi gwe yali alaamidde obusika okumuddira mu bigere. Bano era tebaataliza n'abaana ba Binnyobibi abalala ne babalemesa okutwala obukulembeze bw'ekika n'ekyaddirira bo, bannakigwanyizi kwe kulya obwa Ggunju ensowole n'okutuusa kati.
OBUKULEMBEZE BWA JAMES KIBAYA MUSOKE KU BWA GGUNJU.
Omutaka James Kibaya Musoke olivannyuma lw'okugugulana enfunda eziwera n'abantu abatali bamu abeegwanyiza entebe y'obwa Ggunju nga avaayo awangudde, yayingira olukiiko lw'Abataka mu mwaka gwa 1979  era n'akola emirimu gy'ekika okutuusa mu lutalo bwe ya kwatibwa n'atulugunyizibwa ekyamuwaliriza n'okuwangangukira mu ggwanga lya Kenya gyeyabeera okumala ebbanga. 
Nga akomyewo kuno, yali yakosebwa bya nsusso ngabtayinza kuddamu kutuula mu nkiiko e Mmengo era abadde mulwadde ddala okutuusa wano mu mwaka gwa 2022 lw'aseeredde.
Wabula ekiraamo kyeyaleka kiragira nti olumbe lwe terwabizibwanga okutuusa nga ensowole Kawere evudde ku bwa Ggunju nga ne Sseemu Kawere, Kimoomera  ensowole baggyiddwa ku bukulembeze mu kika.
Nnamutete yakinogaanyizza nti ekiraamo kino kibatadde ku bunkenke nga n'ebikolebwa mu kika tebikyakola makulu okutuusa bye kiragira bissiddwa mu nkola.

Ebiteeso (0)

Tuwe endowoozayo

Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo